Luke 14:12-14

12Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 aNaye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 bOliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”

Copyright information for LugEEEE